Numbers 26:44-47


44Ab’omu kika kya Aseri ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:
abaava mu Imuna, lwe lunyiriri lw’Abayimuna;
abaava mu Isuvi, lwe lunyiriri lw’Abayisuvi;
abaava mu Beriya, lwe lunyiriri lw’Ababeriya.
45Ate okuva mu bazzukulu ba Beriya, ze zino:
abaava mu Keberi, lwe lunyiriri lw’Abakeberi;
abaava mu Malukiyeeri, lwe lunyiriri lw’Abamalukiyeeri.
46Aseri yalina omwana omuwala erinnya lye nga ye Seera.
47 aEzo ze nnyiriri z’ekika kya Aseri; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).
Copyright information for LugEEEE